Share to:

 

Ekibanduso (A Primer of Change)


Okusinziira ku Muwanga , "ekibanduso"(Primer of change ) kiva mu bigambo by'oluganda "ekikolwa eky'emmanduso" oba "ekiwandiiko eky'emmanduso( an act or document that triggers a fundamental change). Mu byafaayo by'ensi, enkulaakulana zizze zivugibwa "ebibanduso eby'enkyukakyuka"(primers of change). Ekibanduso ky'ekyo ekibandula(that which triggers) enkyukakyuka ssinziggu.

Ekimu ku "bibanduso eby'enkyukakyuka" ebikulu mu byafaayo by'ensi , abadde sayansi ne tekinologiya. Olw'okuba sayansi ne tekinologiya kibadde kibanduso ekiteewalika , Charles Muwanga akizudde nti okufuula ennimi zaffe ez'abadddugavu ennimi eza sayansi kibanduso kya nkyukakyuka(primer of change) ssinziggu kye tutayinza kubuusa maaso.

"Omugeye Muwanga agamba nti omuntu yenna omugezi, eyefumiitiriza era omunoonyerezi ne bwaba si mukenkufu mu ssomo erimu oba eddala , ayinza okukola "ekibanduso"(primer of change) okukyusa abantu mu ntabaganya ye(in his society) kyokka alina kufungiza bbiri , anti ajja kusanga ebiwonvu n'ebikko , Muwanga Charles b'alaga okuba abantu ba biti bisatu:

1. Abantu ebitundu 33% baba bajja kukola buli ekikulemesa.Bano be bayita abantu ab'effutwa, enge , n'empiiga(the reactionaries , retrogressive elements of society )

2. Abantu 33% tebajja kufaayo ku ky'okola era bajja kukulaga nti tebibakwatako. Bagamba ebyo bibyo, oba omala biseera oba oli mulalu atalina bya kukola.Bano be bayita abantu abeesuulirayo ogwa naggamba(these are indefferent to social change).

3. Abantu 33% be bantu abajja okukuwa amaanyi, okukuwabula mu mutima omulungi, okukwebaza , n'okukwegattako oba pokukuwa obuwagizi obw'enjawulo bwe wetaaga(progressive elements of society).

Okiraba nti , abasinga obunji tebajja kuba naawe .Kyokka nga omuntu eyekkirirzaamu era ow'enkyukakyuka , lemerangako, onootuuka ku buwanguzi wamu n'aba ababadde bakulemesa. Eno y'ensonga lwaki tuleseewo endowooza ey'omuddugavuwefeeko(blafricanism), topowa(toggwamu maanyi) !!!

Ekibanduso(Primer of change) ky'ekimu ku bintu ebijja okukuyamba okubunyisa enjiri y'ebyo by'ozudde ebigenda okuyamba buli muntu okutuuka ku ntikko !!!

Prefix: a b c d e f g h i j k l m n o p q r s t u v w x y z 0 1 2 3 4 5 6 7 8 9

Portal di Ensiklopedia Dunia

Kembali kehalaman sebelumnya